Kishore Kumar Hits

Chris Evans Kaweesi - Nguwe Ani текст песни

Исполнитель: Chris Evans Kaweesi

альбом: BWEBINYUMA


Ooh oh oh
Oba laavu
Nagikola ki?
Enkasuse ebweru
Sikyabisobola
Omukwano nguwe ani atanimbe bannange?
Wanawake niwaongo
Abakazi bafuuka balimba si banaffe
Wanawake niwaongo
Nange ndi ku kanayokya ani?
Wanawake niwaongo
Nguwe ani?
Babe luno mpite ani?
Wanawake niwaongo
Oh oh oh
Nga nawaalirira nnyo
N'omutima ne nzisaayo
Obusente bwonna ne mbuwaayo
Kyokka omugagga n'amulyawo!
Ah ah
Mu kibuga oba mu kyalo
Amazima baagavaako
Mpulira njagala mbiveeko
Gwe nzijula ntya ne sirya!
Ne gwe nafuna omulala ah
Kyali kikwangala
Bana bana atugattika
Katube bina atupambana
Abakazi ab'embaliga
Nze mbalinamu omukisa
Yegonzanga kumbe
Major General mu bwenzi!
Omukwano nguwe ani atanimbe bannange?
Wanawake niwaongo
Abakazi bafuuka balimba si banaffe
Wanawake niwaongo
Nange ndi ku kanayokya ani?
Wanawake niwaongo
Nguwe ani?
Babe luno mpite ani?
Wanawake niwaongo
Oh oh oh
Omukazi nga waakamufuna taba na buzibu
Awulira omuyita ayitaba
Emize gye abeera agikwekerera yerungiya aba nga malayika
Bwe liyita atandika kumaguka
Nga mberenge ayogera atulika
Ng'alinga akwatiddwa ensalika
Apalappalanya aba nga makanika
Ndowooza ngume mpowe
Ndeke omukwano nsigale ppeke
Kuba maze akaseera nga bantulugunya nsula mu ntebe
Akomawo atomera amalebe
Gumukutte emimwa n'ebigere
Ali ku ssimu akuba n'obukule
Ye anywa bunywi okuva ku mmande
Mbu I can stay without you
Ono w'anywa ayogera luzungu ho!
Omukwano nguwe ani atanimbe bannange?
Wanawake niwaongo
Abakazi bafuuka balimba si banaffe
Wanawake niwaongo
Nange ndi ku kanayokya ani?
Wanawake niwaongo
Nguwe ani?
Babe luno mpite ani?
Wanawake niwaongo
Oh oh oh
Nze yankuba katono anzite
Sikulimba
Nga nsula ku ttale
Bw'akkuba n'omuddiza guba musango
Kyenva nguma n'embale
Nakatinda yanjooga
Lwe yapaala ne Mugisha
Luvannyuma n'ankiina
Mbu nnyimbe ne ku mbaga ha!
Ky'ova olaba mbeera eno
Nzekka lwa nsonga ezo
Ngumira mpewo ekunta eno
Ekiro mu kisenge eyo
Oh ho oh oh
Omukwano nguwe ani atanimbe bannange?
Wanawake niwaongo
Abakazi bafuuka balimba si banaffe
Wanawake niwaongo
Nange ndi ku kanayokya ani?
Wanawake niwaongo
Nguwe ani?
Babe luno mpite ani?
Wanawake niwaongo
Oh oh oh

Double Kick
Yaled

Поcмотреть все песни артиста

Другие альбомы исполнителя

Teo

2022 · сингл

ZAAKE

2022 · Мини-альбом

Похожие исполнители