Serious matter dis A dedication to all dem leaders And the voters Sensitization to avoid a bloody situation Inna dis lovely nation Listen to the edutainment Dis a serious matter Fi daughter, son and father and mother A serious matter Fi all citizen, leader and voter Well then Wabula I don't know What is wrong with my people Kuba entalo zisusse! Especially mu kiseera nga kino Ekirimu okulonda obukyayi busukka! That's why nakubye kano akayimba kabasomese Nti empalana z'ebyokulonda zaadiba N'obutawagira kw'omu tebuba bulabe Olwo eggwanga lwe lijja okula Sso, bwe kuba kulonda tugende tulonde naye Obululu tebutwawula Tuve mu kuyomba olw'abo abeesimbawo Obululu tebutwawula Ffe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimu Obululu tebutwawula Eby'okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo Obululu tebutwawula Wano Kabaya yakuba mukazi we katono amutuge Naye nga byava ku kampeyini za ba kkansala Mukwano gwa Kabaya yeesimbawo Naye nga ne mukazi we naye awagira mulala Kabaya olwakimanya, n'acankalana Okumaliriza nga beekutte beekubye Ono kwata oluyi, nze Kabaya ndeka Era Landlord y'eyabataasa, wulira! Ku mirimu abakozi bayisibwa bubi Bw'aba tawagira muntu omu ne boss we Ku kyalo okulonda olubalukawo Famire zikutukamu n'owulira enjawukana Bangi twabalabako nga baali ba mukwano Kati ne bwe beesisinkana tebebbongako Jjukira eby'e Kenya ku Kibaki ne Odinga Wano saagala biraba Kati bwe kuba kulonda tugende tulonde naye Obululu tebutwawula Tuve mu kuyomba olw'abo abeesimbawo Obululu tebutwawula Ffe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimu Obululu tebutwawula Eby'okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo Obululu tebutwawula Well democracy is all we ever wanted So we must never take it for granted Remember, election violence Is a symbol of backwardness Dis a serious matter Fi daughter, son and father and mother A serious matter Fi all citizen, leader and voter Watch this! Kati eno verse ka ngiweereze abakulembeze Ngiweereze ne kw'abo abeesimbawo Bwoba wasalawo ne weesimbawo Kitegeeza olina ku magezi agatusingako Todda ku katuuti kuvuma b'ovuganya Wabula tutabbire, tumatire tusalewo Jjukira bye mukola naffe bye tukola Mmwe bwe muneneŋana Eno muliro gwe mukuma Kikugasa ki nga gwe omuliro ogukumye? Ate n'oleka nga ffe abalonzi tuttiŋana? Twagala Uganda yaffe mmwe mugikuze Nga mutugatta temutwawula Sso, bwe kuba kulonda tugende tulonde naye Obululu tebutwawula Tuve mu kuyomba olw'abo abeesimbawo Obululu tebutwawula Ffe, tuba tuyombagana nga bo bassa kimu Obululu tebutwawula Eby'okulonda biggwa naye ate ffe tusigalawo Obululu tebutwawula Nze deemu wange awagira mulala Ate nange mpagira mulala Obululu tebutwawula Naye ate bwe bituuka mu maka Obululu budda ku bbali Obululu tebutwawula Ne taata wange awagira mulala Ne maama awagira mulala Obululu tebutwawula Naye ate bwe bituuka mu maka Obululu budda ku bbali Obululu tebutwawula Mukwano gwange awagira mulala Ate nange mpagira mulala Obululu tebutwawula Baasi!!!