Olutalo nga luwedde Tuliyambala engule, Tuliyambala engule, Tuliyambala engule, Olutalo nga luwedde Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. Neva, neva and neva again Shall it be That this beautiful nation Will again experience The oppression Of one By another And bear the indignity Of being the scum of the world Yaga yaga yaga yaga ohh Olutalo nga luwedde Tuliyambala engule Tuliyambala engule Tuliyambala engule Olutalo nga luwedde Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. (Tuliyambla) Tuliyambala(tuliyambala) Tuliyambala Engule zimasamasa Olutalo nga luwedde Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya (Obusosoze) Obusosoze nga buwedde Tuliyambala engule Ne nguzi nga ewedde Tuliyambala engule Ne'kibba ttaka nga kiwedde Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. (Tear gas) Tear gas ng'awedde Tuliyamabala engule Obwa nakyemalira nga buwedde tuliyambla engule Obukenuzi nga bugenze Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. Tuliyambala ×5 Engul'ezimasamasa (Ezimasamasa) Olutalo nga luwedde Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. Obuyinza mu mikono jy'abantu Eyo y'ensi ensuubize Tuliba nga tebakyatufugisa mmundu Mu nsi ensuubize Muggwanga ery'amazima N'obwenkanya Eyo y'ensi ensuubize Tulinyumira Uganda eno Kale nno ffuna endaga muntu Osobole okwebereramu N'okukyusa ebikunyiga Ago amanyi tugalina Era People power ng'ewangudde Tuliyambala engule Tulinyumirwa Uganda empya (...) ♪ Omusolo nga gukeendedde Tuliyambala engule Abalimi nga bafunye akatale tuliyambala engule Nga munsi yo olina eddembe tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. Amalwaliro nga gateredde Tuliyambala engule Nga tetukyafa nga tuzaala Tuliyambala engule Nga buli kikyamu kiteredde Tuliyambala engule Tulivimba mu Uganda empya. Mukozese mirembe temurwana tuliyambala engule ♪ Mwenna muli baana ba Ruhanga tuliyambala engule Banauganda tuli baluganda Tuliyambala engule Tulinyumirwa Uganda eyooo Tuliyambala ×4 engule zimasasa (ezimasamasa)
Olutalo nga luwedde Tuliyambla engule Tulivimba mu Uganda empya.