Kishore Kumar Hits

David Lutalo - Guluma Yanguza текст песни

Исполнитель: David Lutalo

альбом: Nakusiima


Gwe wasalawo okole bwotyo
Amakago n'ogayisamu amaaso
Laba bwofanana kumyaka egyo
Obulamu wabutekamu ekyegyo
So nakubulira nga oyige
Nti omukazi tebamukwata batyo
Gwe ng'ombadala bubadazi
Nga mukwanogwo omanyi kimu sente
Ku byewanziramu nkutya nze
Bwendaba nga wegonza bwotyo
Watabuka wamera amajjimbi (haha uh, ha)
Laba bwofananna kati
Olinga embuzi eyasuze ku kyooto
Kati nze omukazi mugambe ntya
Nga wamugamba gyolaze tajja
Gwewasambira ng'eka
Totuma nze gendayo omugambe
Kubanga guluma yaguza
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh, omutima guluma yaguzza kimanye eh
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh, ebyomukwano biba by'ababiri (genda omugambe)
(Genda omale ensongazo)
Guluma yaguza manya
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh
Sente tuzagala naye
Tufune ekipimo zifune wezikoma
Omukwano tegugatwa na nsimbi
Wobigata ekimu kikona
Mbu wakola buli kaze
N'okamalayo mu nsi, nga naye ye aguma
Obuwala n'obusomba sombanga n'obuyinginza mu nju
Bwakugambako n'okuba
Kati mbu okaaba
Omusujja gukukwata
Okwo kusaaga
Oli mu matanta (hey)
Sikusekerera naye, manya mu mukwano mubamu okweguya
Muno bwagula ki sikati
Nga ofumba ka ccayi
Si buggagga ne wewataba sukaali
Ofuna akadalasini
Kyenva nkugamba waluganda
Gendayo, omwetondere
Kubanga guluma yaguza (oh-oh we)
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh, omutima guluma yaguzza kimanye eh
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh, ebyomukwano biba by'ababiri (genda omugambe)
(Genda omale ensongazo)
Guluma yaguza manya
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh
Yangamba akaba bambi
Mbu ye akyakupenda walayi
Oh, oh-oh
Mbu wabadala mubadale, ng'ogenda bw'osekka
Yali na lubuuto nga lumula okuffa
N'akusaba ojje omuyambe, naye wagana, aah
Bakozesa n'obaganza (oh oh)
Kubanga wafuna dollar
Amaka nga togazimba
Nze nkole ntya (nkole ntya!)
Genda omale ensongazo
Kubanga guluma yaguza (eh-eh eh)
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh, omutima guluma yaguzza kimanye eh
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh, ebyomukwano biba by'ababiri (genda omugambe)
(Genda omale ensongazo)
Guluma yaguza manya
(Genda omale ensongazo)
Oh-oh
Kale bwebiba, eby'omukwano bwebityo (genda omale ensongazo)
Omukwano kuyiya yiya, olukalikali lubi (genda omale ensongazo)
Genda omugambe, mwetondere
Mukwate bulungi (genda omale ensongazo)
Yaled gamba Nasser ne Kuula bakomye amatanta (genda omale ensongazo)
Ivo muganda wange, muno Derrick mugambe (genda omale ensongazo)
Anatolious, Trevor nawe mugambe (genda omale ensongazo)
Oh-oh oh, oh-oh (genda omale ensongazo)

Поcмотреть все песни артиста

Другие альбомы исполнителя

Похожие исполнители

Mun G

Исполнитель