Kishore Kumar Hits

Levixone - Mbeera текст песни

Исполнитель: Levixone

альбом: Mbeera


Hmmm
Bo bo bo bo bo bo
Hmmm hmm hmm
Nessim Pan Production
Levixone
Kamya yali mugezi nnyo
Bwe yali asoma mu kibiina
Nga buli mwana ekimudaaza
Ye tayinza kigwa
Yeeresa disco n'asula mu ku revisinga
Yasoma bulungi ne bamutikkira
Ne yesunga okola
Naye omulimu gwabula
Yonna gye yagenda okugusaba
Era diiguli ye yamusala
Ennaku n'eruma
Kati yafuuka toilet attendant mu Kikuubo
W'aggya z'asasula abamubanja
N'akazigo mw'asula
Ekimunyiiza agaali agasiru mu kibiina
Galina emirimu gavuga mpya
Mwana wa gundi yajuna, ooh
Levixone
Bw'omubuuza agamba mbeera
Mbeera, mbeera
Ekimbonyaabonya mbeera
Mbeera, mbeera
Omulimu ssigwagala naye mbeera
Mbeera, mbeera
Ekigunkozesa mbeera
Mbeera, mbeera
Morgan
Edgar, ayambala ng'omukazi ekiro
Nga yeeyita Zeridah
N'afera abasajja eh obiwulira
Ebintu by'ayogera Edgar bw'aba afera
Bannange bisesa
Nze eby'abasajja nali nabyekuba
Bampe chips ne vodka
Baby nze saagala kunjiwa
Are you sure togenda kudduka?
Yeekoza, abayitika ne bazimuwa
Abamugwaamu ne bakuba
Naye era Edgar, oluwona
Ng'akwata wiigi ye ng'addayo fera
Nga baddamu nga bakuba yiii!!
Morgan
Bw'omubuuza agamba mbeera
Mbeera, mbeera
Ekimbonyaabonya mbeera
Mbeera, mbeera
Bankuba naye mbeera
Mbeera, mbeera
Nzirayo lwa mbeera
Mbeera, mbeera
Both
Naliko mu mbeera
Yesu y'anzigya mu mbeera
Naliko mu mbeera
Yesu n'anzigya mu mbeera nange
Asobola asobola Yesu (yeah yeah)
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola muganda wange
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola okukyusa embeera
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola muganda wange yeah
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola okukyusa embeera
Asobola asobola asobola Yesu
Yeah yeah yeah yeah
Asobola asobola asobola Yesu
Asobola muganda wange
Asobola asobola asobola Yesu
Byonna ebyakusiba
Asobola okukyusa embeera
Asobola, asobola, asobola Yesu
Oh ah ba, oh yeah yeah
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Eh yeah

Поcмотреть все песни артиста

Другие альбомы исполнителя

Похожие исполнители

Fille

Исполнитель