Kishore Kumar Hits

Irene Ntale - Nkubukinze (Remix) текст песни

Исполнитель: Irene Ntale

альбом: Sembera


Ooh ooh!
Nze leero nkubukinze
Eh yeah eh
Ooh ooh
Kendeeza overtime
Onyongere more time
Tubeere ko ng'abalala, mu mukwano ogwegombesa
Enzikiza ekwate, enkuba nebweyiika
Akasana nekekyanga, teli kija kutwawunkanya
Buli kadde obeera busy, n'esimu onyiga busy
Gwe nongamba mbeere easy, hmm bambi kyusa mu
Kati ndeese strategy mpya
Amagezi nsaze ga wakayima
Okukubukinga mu budde
Ne calender yo ngyefuge
Kati mikwano gyo gigambe
Eyo gyonoba bwodda
Nze leero nkubukinze
Abakutwalira obudde, honey bateeke ko quota
Kuba leero nkubukinze
Bweba flight
Mbukinze air ticket
Nasabye front seat
Nga nkooye okusiba ekira
Gwe nkufudde pilot
Mu nyonyi eyaffe tuli babiri
Abalala tubalaba bulabi
Nga tutumbera eyo mu bire
Ebibadde bikunemesa, emilimu gyo n'emikwano
N'abawala abakusumbuwa
Eh, bagambe leero
Kati mikwano gyo gigambe
Eyo gyonoba bwodda
Nze leero nkubukinze
Abakutwalira obudde, honey bateeke ko quota
Kuba leero nkubukinze
Baby nkumeetinga okooye (olusi mbouncinga)
Time table yo ngikooye (kuba mba nkumissinga)
Mpa akadde akamala, okubeera nawe kyenjagala
Sirina mulala, yenze mukyala wo kuva lwewasalawo
Nkusaba kyusa plan zo
Olwa leero njagala mbe wuwo
Nesunze dda okukulaga kubyendina wo
Nkubukinze
Kati mikwano gyo gigambe
Eyo gyonoba bwodda
Nze leero nkubukinze
Abakutwalira obudde, honey bateeke ko quota
Kuba leero nkubukinze
Kati mikwano gyo gigambe
Eyo gyonoba bwodda
Nze leero nkubukinze
Abakutwalira obudde, honey bateeke ko quota
Kuba leero nkubukinze
Eeh eh hey
Ooh, nkubukinze (nze leero nkubukinze)
Ooh oh ooh
Baby nkubukinze (nze leero nkubukinze)
Nkubukinze eh eeh eh

Поcмотреть все песни артиста

Другие альбомы исполнителя

Похожие исполнители

Mun G

Исполнитель