Ndabye obulungibwo munsi eno eýabalamu
Ssinga ggwe tobadde nange nandilazeewa?
Ondeze okuvóbuto tondese kumirwa ttosi
Bwendaba gyonzije nange nneewuunya nnyo
Ggwe laba ompadde abaana abalunji
Ompadde oluyimba olupya
Onkuumye nentalo'zilwanye
Obulamu obujjuzzéssanyu
Njagala nkwebaze leero (leero)
Kubanga byonkoledde bingi (nnyo)
Njagala nkwebaze leero (leero)
Kubanga byonkoledde bingi (nnyo)
Nnali nga nsikattidde nga ssirina na maanyi munda
Gambuka nsozi mpanvu zennali nnengera
Naye mukama yeyayamba, yanzija mukiwonvu wansi
Nandaga omukwano mungi ogutalojjeka
Ggwe laba ampadde'omubeezi omulungi
Ampadde ekisakye ngase
Ggwe laba ampadde emikwaano emirungi
ONzigulidde enzigi engazi
Njagala nkwebaze leero (leero)
Kubanga byonkoledde bingi (nnyo)
Njagala nkwebaze leero (leero)
Kubanga byonkoledde bingi (nnyo)
Eeh (Nsiima)
Entasiima ebula agiwa (nsiima)
Kankweebaze (nsiima)
Bwembala byonkoledde (nsiima)
Ssibimalaayo (Nsiima)
Nze nsiima (Nsiima)
Nsiima (Nsiima)
Weebale (Eeeh)
Nkweebaza (Eeeh)
Weebale (Eeeh)
Weebale, weebale weebale
Weebale (Eeeh)
Nkweebaza (Eeeh)
Weebale (Eeeh)
Weebale, weebale weebale
Abaana obampadde (nsiima, nsiima)
Nakasimbi munsawo (nsiima, nsiima)
Era bwontemedde ekkubo (nsiima, nsiima)
Ongolodde ssebo (nsiima, nsiima)
Njagala nkweebaze nze (nsiima, nsiima)
Olwekisaakyo ekingi (nsiima, nsiima)
Laba onfukiridde nze (nsiima, nsiima)
Ompadde amagezi (nsiima, nsiima)
Поcмотреть все песни артиста
Другие альбомы исполнителя